KANYABO! Kkooti efulumizza ekiwandiiko ekikambwe ku nsonga za Muka Mbuga, Vivienne, aba famire bali mu maziga

©GALAXY

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Musana Ssekaana akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu yafulumizza ekiwandiiko ekikambwe eri Ssaabadumizzi wa poliisi mu Ggwanga Martin Okoth Ochola ne Ssaabawabi wa Gavumenti Mike Chibita ku nsonga za  Angela Vivienne Chebet mukyala wa Sulaiman Kabangala Mbuga (SK Mbuga). Mu kiwandiiko, omulamuzi avumiridde ekya Poliisi okukuumira Chebet mu kaduukulu nga […]


Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Musana Ssekaana akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu yafulumizza ekiwandiiko ekikambwe eri Ssaabadumizzi wa poliisi mu Ggwanga Martin Okoth Ochola ne Ssaabawabi wa Gavumenti Mike Chibita ku nsonga za  Angela Vivienne Chebet mukyala wa Sulaiman Kabangala Mbuga (SK Mbuga).

Mu kiwandiiko, omulamuzi avumiridde ekya Poliisi okukuumira Chebet mu kaduukulu nga tatwaliddwa mu kkooti okusukka essaawa 48 era alagidde Poliisi muka Mbuga okutwalibwa mu kkooti mu bwangu.

Omulamuzi alagidde obutasukka 4th March 2019, Chebet okutwalibwa mu kkooti oba okuyimbulwa kuba okumukuumira mu kaduukulu kityoboola eddembe ly’obuntu.

Kinnajjukirwa nti ku lunnaku Olwokubiri, famire ya chebet nga bakulembeddwamu muganda we omulenzi Samuel Mukasa baduukira mu kkooti okusaba omulamuzi alagire omuntu waabwe chebet ayimbulwe kuba akulungudde mu kaduukulu ennaku 12.

Aba famire bagamba nti Chebet bw’aba alina omusango bamutwale mu kkooti avunaanibwe mu kifo ky’okutyoboola eddembe lye.

SK Mbuga n’omukyala Chebet bavunaanibwa okunyaga ssente ku Muzungu.
Chebet ye yanyaga ssente ezisukka mu buwumbi 23 obwa Uganda okuva ku eyali muganzi we Omuzungu Sten Heinsoo era y’emu ku nsonga lwaki yakwatiddwa.
Yakwatibwa 14, February 2019, mu Kampala era kigambibwa nti bagenda kumutwala mu ggwanga erya Denmark okuvunaanibwa emisango gy’okufera ssente ne bba SK Mbuga.