Hamuza Mwebe agattiddwa ku Abubakar Kalungi ku misango gy’okutta eyali adduumira Poliisi y’e Buyende ASP Muhammad Kirumira. Mwebe myaka 49, mutuuze we Namungoona Kigoma mu ggoombolola y’e Rubaga era yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ow’eddala erisooka e Wakiso Noah Ssajjabi ku lunnaku Olwokusatu era yaguddwako emisango ebiri (2) egy’obutemu. Mu kkooti, Mwebe teyakiriziddwa kwogera kigambo kyonna […]
Hamuza Mwebe agattiddwa ku Abubakar Kalungi ku misango gy’okutta eyali adduumira Poliisi y’e Buyende ASP Muhammad Kirumira.
Mwebe myaka 49, mutuuze we Namungoona Kigoma mu ggoombolola y’e Rubaga era yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ow’eddala erisooka e Wakiso Noah Ssajjabi ku lunnaku Olwokusatu era yaguddwako emisango ebiri (2) egy’obutemu.
Mu kkooti, Mwebe teyakiriziddwa kwogera kigambo kyonna kuba ali ku misango gya naggomola era ye ne munne Kalungi batwaliddwa ku limanda mu kkomera e Kigo okutuusa nga 13, March, 2019.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kalungi, Mwebe n’abakyaliira ku nsiko nga, 8, September, 2018 bakuba Kirumira amasasi agamuttirawo ne mukwano gwe Resty Nalinnya Mbabazi e Bulenga ku luguudo lwa Kampala – Mityana.
Wabula Kalungi ne Mwebe baleese bwiino nga bafulumye kkooti era bagambye nti tebalina musango gwonna kuba tebayinza kutta Kirumira era byonna byabulimba.
Kalungi agamba nti omuntu eyatta Kirumira alina okuba nga musirikale wadde tayogedde linnya lya musirikale yenna.