Kalibutemu Richard Arinaitwe akulungudde emyaka 20 mu kkomera e Luzira, adduukidde mu kkooti ejjulirwamu, okuwakanya eky’okusibwa amayisa mu 2003. Arinaitwe yasindikibwa e Luzira omulamuzi wa kkooti enkulu Kagaba Rwamisazi ku misango egy’okutta omuzungu, munnansi wa America Cecilia Goetz nga 28, March, 1998 mu Equatorial Hotel mu Kampala. Goetz yali mu Uganda okulondola ensasaanya y’ensimbi ezaali […]
Kalibutemu Richard Arinaitwe akulungudde emyaka 20 mu kkomera e Luzira, adduukidde mu kkooti ejjulirwamu, okuwakanya eky’okusibwa amayisa mu 2003.
Arinaitwe yasindikibwa e Luzira omulamuzi wa kkooti enkulu Kagaba Rwamisazi ku misango egy’okutta omuzungu, munnansi wa America Cecilia Goetz nga 28, March, 1998 mu Equatorial Hotel mu Kampala.
Goetz yali mu Uganda okulondola ensasaanya y’ensimbi ezaali zisindikibwa Abazungu mu kulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya.
Arinaitwe yakwatibwa okuva makaage e Kololo gye yali yekwese emyezi egisukka 3 era mu nnyumba mwasangibwamu emmundu ebbiri (2) ekika kya pisito n’ebyambe.
Wabula mu maaso g’abalamuzi 3 okuli Hellen Obura, Ezekiel Muhanguzi ne Elizabeth Musoke, Arinaitwe agamba nti okusibwa amayisa kyali kimenya amateeka.
Munnamateeka wa Arinaitwe, Elizabeth Asiimwe agamba nti mu kkooti omuntu we baamulemesa okufuna munnamateeka era yakiriza emisango mu kutya okungi.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Nelly Asiku luwakanyizza eky’okukendezza ekibonerezo kya Arinaitwe.
Abalamuzi, bategeezeza nti baakulangirira olunnaku olw’okuwa ensala yaabwe.
Ekifaananyi kya Daily Monitor