Omuyimbi Sheebah Kalungi ayugumizza ‘Club Amnesia’ mu kiro ekikesezza olunnaku olwaleero ku Lwokutaano mu kivvulu kya campus night. Sheebah atuuse ku Amnesia ku ssaawa 7 ez’ekiro era alinnye ku siteegi ku ssaawa 8 zennyini ez’ekiro ng’alindiriddwa namungi w’omuntu n’omusingira ddala abawala. Ku siteegi, akubye ennyimba ezenjawulo omuli mummy yo, Beera nange, tunywe n’endala era bangi […]
Omuyimbi Sheebah Kalungi ayugumizza ‘Club Amnesia’ mu kiro ekikesezza olunnaku olwaleero ku Lwokutaano mu kivvulu kya campus night.
Sheebah atuuse ku Amnesia ku ssaawa 7 ez’ekiro era alinnye ku siteegi ku ssaawa 8 zennyini ez’ekiro ng’alindiriddwa namungi w’omuntu n’omusingira ddala abawala.
Ku siteegi, akubye ennyimba ezenjawulo omuli mummy yo, Beera nange, tunywe n’endala era bangi ku bavubuka basabbaladde kuba abadde ayambadde akagoye akalaga entumbwe yonna.
Ate ba DJ bonna omuli Nimrod, Herbert, Switch, Denno n’abalala boolesezza obukodyo mu kukuba abantu emiziki era bonna abadigize bavuddeyo bamatidde nti mu Kampala, Club Amnesia esukkulumye nnyo ku ndala.