Omuyimbi Eddy Kenzo alondeddwa okuva mu Uganda okwegata ku bayimbi banne mu nsi ezenjawulo okukyamula abadigize mu kivvulu kya “Afro beats Festival’ nga 9, March, 2019. Ekivvulu kiri ku Wrangler Club e Bahrain era abayimbi bangi nnyo abasuubirwa okukyetabako. Mu Uganda, Kenzo ye muyimbi asinga okumanyika mu nsi yonna oluvanyuma lw’okuyimba oluyimba lwa “Sitya loss” […]
Omuyimbi Eddy Kenzo alondeddwa okuva mu Uganda okwegata ku bayimbi banne mu nsi ezenjawulo okukyamula abadigize mu kivvulu kya “Afro beats Festival’ nga 9, March, 2019.
Ekivvulu kiri ku Wrangler Club e Bahrain era abayimbi bangi nnyo abasuubirwa okukyetabako.
Mu Uganda, Kenzo ye muyimbi asinga okumanyika mu nsi yonna oluvanyuma lw’okuyimba oluyimba lwa “Sitya loss” era bangi ku bazungu bamwagala nnyo olw’oluyimba olwo.
Kenzo era ye muyimbi mu East Africa akyasinze okuwangula ‘Award’ ezenjawulo omuli BET, Nickelodeon Kids Choice n’endala, ekimufudde omuyimbi ow’enjawulo ku balala.
Mu kiseera kino alina oluyimba olupya “Ogwo” era alina asuubi nti lusobola okuwangula BET.
Kigambibwa nti Kenzo yawereddwa obukadde n’obukadde bwa ssente okuyimba mu kivvulu ekyo kyokka bayimbi banne omuli Bebe Cool, Dr Jose Chameleone n’abalala basuuliddwa tebafunye mukisa.