ANI AWAKANA! Bibino ebifudde Eddy Kenzo omuyimbi ow’enjawulo mu Uganda, tewali amuwunyamu wadde Bebe, Bobi ne Chameleone bakoze buli kimu

©GALAXY

Uganda y’emu ku nsi ezirina abantu abalina talenti mu kuyimba kyokka abayimbi batono nnyo abasobodde okuwangalira mu kisaawe ky’okuyimba nga bavuganya. Abayimbi abamu baleeta amaanyi kyokka mu myaka 2 oba 3, bangi basigaza linnya. Olunnaku olwaleero, tukuletedde lwaki Eddy Kenzo asukkulumye nnyo ku bayimbi abalala mu myaka 10 gy’abadde mu kisaawe ky’okuyimba. Kenzo yazaalibwa Masaka […]


Uganda y’emu ku nsi ezirina abantu abalina talenti mu kuyimba kyokka abayimbi batono nnyo abasobodde okuwangalira mu kisaawe ky’okuyimba nga bavuganya.

Abayimbi abamu baleeta amaanyi kyokka mu myaka 2 oba 3, bangi basigaza linnya.

Olunnaku olwaleero, tukuletedde lwaki Eddy Kenzo asukkulumye nnyo ku bayimbi abalala mu myaka 10 gy’abadde mu kisaawe ky’okuyimba.

Kenzo yazaalibwa Masaka era ku myaka 5 yafiirwa nnyina. Kenzo ng’amannya ge amatuufu ye Edrisa Musuuza era nnyina olwafa, kwekutandika okubeera ku nguudo z’omu Kampala (street) okumala emyaka 13.

Oluvanyuma, yafuna erinnya lwa Eddy Kenzo era mu 2008 yalabikira mu luyimba lwa ‘Yanimba’ ne mukwano gwe Mikie Wine.

Mu 2010, yafulumya oluyimba ‘Stamina’ era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yeyambisa oluyimba olwo mu Kampeyini za 2011. Mu 2012 yafulumya alubamu ‘Ogenda Kunzisa’ era wayita omwaka gumu (1), nafulumya ‘Kamunguluze’, kwekutandiika okuyimba mu mawanga agenjawulo omuli ne America.

Oluvanyuma, mu May, 2014 Kenzo yafulumya oluyimba “Sitya Loss” omwali abaana ba Triplets Ghetto Kids era oluyimba olwo, lwakyusa obulamu bwe.

Okuva 2014, Kenzo afulumizza ennyimba mpitirivu nnyo omuli Zigido, So Good, Mbilo Mbilo, Soraye, Disco Disco, Sembera Eno, Jubilation, Mukomboti n’endala.

Mu Uganda, Kenzo ye muyimbi asinze okuyimba mu mawanga agenjawulo era ye muyimbi asinga okumanyika mu myaka 10 gy’ayimbidde.

Kenzo bwe yali awangudde BET mu 2015
Kenzo bwe yali awangudde BET mu 2015

Bangi ku bannayuganda bayinza okuwakana naye Kenzo ye muyimbi yekka mu Uganda alina engule (Award) ya BET, gye yawangula mu 2015.

Engule endala mulimu

2014 Best New Music Act

2015 Viewer’s Choice Award

2015 Best Use of Social Media by Artist

2018 Best African Entertainer n’endala mpitirivu nnyo.

Kenzo ye muyimbi akyasinze okuwangula ‘Award’ ezenjawulo, wanno mu Uganda awangudde mpitirivu nnyo omuli Zzina Awards n’endala.

Kenzo olw’embeera gye yakuliramu, teyasoma kugenda wala.

Kenzo wadde ayimba mu Luganda, asobodde okweyambisa ennyimba ze, okwagaza abazungu oluganda era bangi banyumirwa oluyimba lwa Sitya Loss wadde tebategeera bigambo.

Kenzo bingi byakoze okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba omuli n’okutumbula talenti z’abantu abalala mu kibiina kye ekya Big Talent.

Mu kiseera kino alina abaana babiri (2) abamanyiddwa omuli Maya Musuuza Mirembe gwe yazaala mu 2011 mu mukyala Tracy Nabatanzi oluvanyuna ne baawukana.

Omwana omulala ye Aamaal Musuuza gwe yazaala mu 2014 mu mukyala we Rema Namakula gw’alina mu kiseera kino.

Lindirira ebikwata ku bayimbi abalala omuli Jose Chameleone, Bobi Wine, Bebe Cool, Sheebah Kalungi, Rema Namakula n’abalala.