Assistant Commissioner of Police (ACP), Sam Omala alangiridde nti 2021 ayingira ebyobufuzi. Omala bw’abadde eyogerako eri bannamawulire enkya ya leero mu makaage e Tororo, agambye nti nga 1, March, 2019 alina okuwuumula emirimu gya Poliisi. Agamba nti asindiise abantu abenjawulo okwekeneenya embeera y’ekifo ekituufu kyagenda okwesimbako. Omala agamba nti ayinza okwesimbawo ku bwa ssentebbe bwa […]
Assistant Commissioner of Police (ACP), Sam Omala alangiridde nti 2021 ayingira ebyobufuzi.
Omala bw’abadde eyogerako eri bannamawulire enkya ya leero mu makaage e Tororo, agambye nti nga 1, March, 2019 alina okuwuumula emirimu gya Poliisi.
Agamba nti asindiise abantu abenjawulo okwekeneenya embeera y’ekifo ekituufu kyagenda okwesimbako.
Omala agamba nti ayinza okwesimbawo ku bwa ssentebbe bwa disitulikiti y’e Tororo oba ku ky’omubaka wa Palamenti obwa West Budama North mu 2021.
Mu kiseera kino, Richard Othieno Okoth ye mubaka wa West Budama North kyokka Omala alangiridde nti ayinza okumwesimbako.

Omala eyayatiikirira ennyo mu Kampala n’emiriraano, ng’akulira ebikwekweto omuli okulemesa Dr Kizza Besigye okutambula okuva mu makaage e Kasangati agambye nti mu kiseera kino tali mu byabufuzi kuba akyali musirikale era talina kwenyigira mu byabufuzi byonna okutuusa ng’awumudde emirimu gya Poliisi.
Abamu ku bannayuganda bewunyiza lwaki Omala alekulire Poliisi era abamu bagambye nti akooye omusaala gw’ebinusu ate abalala bagambye nti akooye ebiragiro bya mukama we Martin Okoth Ochola.
Kigambibwa Omala agenda kuwumula kuba awezeza emyaka 60 egy’obukulu.