AWEDDE! Omukyala akwattiddwa poliisi lwa mitwalo 60, asangiddwa mu kkanisa ya Paasita Kayanja

©GALAXY

Bya Nalule Aminah Polisi mu Kampala ekutte omukyala Esther Nantege ng’avunanibwa kwewamba naasaba ensimbi emitwaalo 60 egya shillingi okuva mu benganda ze. Nantege yabadde yekweese mu kkanisa ya paasita Robert Kayanja eya Miracle Centre Cathederal e Lubaga kyokka bwe yakwaatiddwa, kwekutegeeza nti abadde ayagala kufuna ssente okutandiika bizinensi y’okusuubula ebyennyanja. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi […]


Bya Nalule Aminah

Polisi mu Kampala ekutte omukyala Esther Nantege ng’avunanibwa kwewamba naasaba ensimbi emitwaalo 60 egya shillingi okuva mu benganda ze.

Nantege yabadde yekweese mu kkanisa ya paasita Robert Kayanja eya Miracle Centre Cathederal e Lubaga kyokka bwe yakwaatiddwa, kwekutegeeza nti abadde ayagala kufuna ssente okutandiika bizinensi y’okusuubula ebyennyanja.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omukyala Nantege ali ku Poliisi yaabwe e Nateete era okunoonyereza kukyagenda mu maaso.