Kyaddaki omubaka wa Mukono munisipaali Betty Nambooze Bakireke aleese bwiino ku bantu abaakulembeddemu okulumbagana, okukola effujjo ku Dr Kizza Besigye ku lunnaku Olwomukaaga, ng’ava ku CBS mu pulogulamu Palamenti yaffe. Kigambibwa nti abawagizi b’ekisinde kya ‘People Power’ ekikulemberwa Bobi Wine babadde balindiridde Dr Besigye wabweru w’ekizimbe Masengere e Mmengo era Besigye olwavudde mu situdiyo, kwekumulumba […]
Kyaddaki omubaka wa Mukono munisipaali Betty Nambooze Bakireke aleese bwiino ku bantu abaakulembeddemu okulumbagana, okukola effujjo ku Dr Kizza Besigye ku lunnaku Olwomukaaga, ng’ava ku CBS mu pulogulamu Palamenti yaffe.
Kigambibwa nti abawagizi b’ekisinde kya ‘People Power’ ekikulemberwa Bobi Wine babadde balindiridde Dr Besigye wabweru w’ekizimbe Masengere e Mmengo era Besigye olwavudde mu situdiyo, kwekumulumba nga bayimba People Power, twagala Bobi Wine, Besigye twakukoowa”.
Mu mbeera eyo, Dr Kizza Besigye yayanguye okulinya emmotoka navaawo kyokka okulwanagana kweyongedde wakati w’abawagizi ba Dr Besigye ne Bobi Wine era Poliisi yayitiddwa okutebenkeza embeera.
Wabula Omubaka Nambooze anokoddeyo abamu ku bantu abenjawulo abagambibwa okulumba Dr Besigye
Nambooze agamba nti James Mubiiru n’omumyuka we bebakulembeddemu okutekateeka okulumba Besigye ate Sepiria Kabuuka yeyakulembeddemu abavubuka okulinda Besigye ku Bulange.
Wabula Bobi Wine agamba nti balina okunoonyereza ku abantu abakoze effujjo ku Dr Besigye kuba aba People Power tebakirizibwa kwolesa mpisa nsiwuufu.
Bobi Wine era asobeddwa kuba kirabika waliwo abantu abakulembeddemu okutabangula enkolagana wakati we ne Besigye.