Zari ayanukudde Platnumz, awadde ensonga 3 lwaki yamwesonyiwa mu bulamu bwe, awadde abakyala amagezi Kyaddaki omukyala Zari Hassan atabukidde abagamba nti lwaki yasuulawo Omutanzaniya era omuyimbi Diamond Platnumz. Zari yali azaalidde Platnumz abaana babiri (2) wabula mu 2017 baafuna obutakaanya ne baawukana. Wabula Zari awadde abantu emitenderera esatu (3), egisobola okukyusa obulamu bw’omuntu yenna, era […]
Zari ayanukudde Platnumz, awadde ensonga 3 lwaki yamwesonyiwa mu bulamu bwe, awadde abakyala amagezi
Kyaddaki omukyala Zari Hassan atabukidde abagamba nti lwaki yasuulawo Omutanzaniya era omuyimbi Diamond Platnumz.
Zari yali azaalidde Platnumz abaana babiri (2) wabula mu 2017 baafuna obutakaanya ne baawukana.
Wabula Zari awadde abantu emitenderera esatu (3), egisobola okukyusa obulamu bw’omuntu yenna, era y’emu ku nsonga lwaki yayawukana ne Platnumz.

Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era anokoddeyo ensonga 3 ezitambulira mu bulamu bw’omuntu yenna omuli ‘Choice, Chance ne Change’.
Zari agamba nti buli muntu yenna alina okusalawo, okukyusa embeera yonna, okusobola okufuna enkyukakyuka mu bulamu, “You must make the Choice, to take the Chance, if you want anything in life to Change”.
Ebigambo bye Zari kabonero akalaga nti teyejjusa kwawukana na Platnumz mu bulamu bwe.