NAYE LWAKI! Kyaddaki Bobi Wine ayogedde amazima ku bavubuka abaakoze effujjo ku Dr Besigye, aleese ebyama byonna

©GALAXY

Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine azzeemu okuvumirira effujjo eryakoleddwa ku Dr Kizza Besigye ku Bulange e Mmengo ku Lwomukaaga. Bobi Wine agambye nti, “ffe aba People Power, abavubuka abato era abantu abanyigirizibwa tukkiririza mu nkyukakyuka ez’emirembe, okuwa abantu abalala ekitiibwa n’okusingira ddala eri abantu abavuddeyo okulwanirira enkyukakyuka”. […]


Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine azzeemu okuvumirira effujjo eryakoleddwa ku Dr Kizza Besigye ku Bulange e Mmengo ku Lwomukaaga.

Bobi Wine agambye nti, “ffe aba People Power, abavubuka abato era abantu abanyigirizibwa tukkiririza mu nkyukakyuka ez’emirembe, okuwa abantu abalala ekitiibwa n’okusingira ddala eri abantu abavuddeyo okulwanirira enkyukakyuka”.

Bobi Wine era agambye nti aba People Power tebakkiririza mu ffujjo era kiteeberezebwa nti effujjo eryakoleddwa ku Dr Besigye lyapangiddwa Gavumenti okulaga eggwanga nti People Power kisinde ky’abakozi ba ffujjo.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu kibangirizi kya kkooti enkulu e Gulu gy’abadde agenze okulwanirira omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Francis Zaake okweyimirirwa ku kakalu ka kkooti ku misango gy’okulya mu nsi olukwe, Bobi Wine azzeemu okukinogaanya nti ekisinde kya People Power si bakozi ba ffujjo.

Bobi Wine era agambye nti mu kiseera kino ab’oludda oluvuganya balina okwegatta okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga oba okusaanawo kuba aba People Power tebakkiririza mu ffujjo.