ATTIDDWA MU BUKAMBWE! Abatuuze 6 bakwattiddwa ku misango gy’obutemu, essimu yevuddeko obuzibu

©GALAXY

Poliisi y’e Amuru ekutte abantu 6 ku misango gy’obutemu. Abakwattiddwa, bavunaanibwa okutwalira amateeka mu ngalo ne bakuba Erick Komakech, omutuuze mu Town Council y’e Amuru nga bamulumiriza okubba essimu. Komakech yakubiddwa ne bamuleka ng’ataawa ng’ali mu mbeera mbi era okumutwala mu ddwaaliro erya St. Mary’s Hospital Lacor mu disitulikiti y’e Gulu, abasawo kwekutegeeza nti afudde. […]


Poliisi y’e Amuru ekutte abantu 6 ku misango gy’obutemu.

Abakwattiddwa, bavunaanibwa okutwalira amateeka mu ngalo ne bakuba Erick Komakech, omutuuze mu Town Council y’e Amuru nga bamulumiriza okubba essimu.

Komakech yakubiddwa ne bamuleka ng’ataawa ng’ali mu mbeera mbi era okumutwala mu ddwaaliro erya St. Mary’s Hospital Lacor mu disitulikiti y’e Gulu, abasawo kwekutegeeza nti afudde.

Abakwattiddwa kuliko omugagga Martin Oyet, nanyini African Gardens mu Town Council y’e Amuru, Hassan Nsubuga, Ivan Massaba, Sarah Omonyi, M Oroma ne Ivan Khaukha.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa, Patrick Jimmy Okema agambye nti abakwate bali ku kitebe kya Poliisi mu disitulikiti y’e Amuru ku misango gy’obutemu era okunoonyereza kukyagenda mu maaso.