BAMBI! Omutuuze w’omu Lusanja bamukubye akatayimbwa, abatuuze batabukidde omugagga Kiconco

©GALAXY

Omuvubuka Godfrey Walusimbi atemera mu myaka 19 yasimatuuse n’ebisago eby’amaanyi bwe yagudde mu bazigu mu kiro ekyakeesezza ku lunnaku Olwokutaano sabiti ewedde nga 1, March, 2019. Walusimbi mutabani wa Prossy Nakalyango omu ku batuuze b’omu Lusanja abagobaganyizibwa omugagga Medard Kiconco era yakubiddwa akatayimbwa ku mutwe n’okumusambasamba ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro bwe yabadde ava ku […]


Omuvubuka Godfrey Walusimbi atemera mu myaka 19 yasimatuuse n’ebisago eby’amaanyi bwe yagudde mu bazigu mu kiro ekyakeesezza ku lunnaku Olwokutaano sabiti ewedde nga 1, March, 2019.

Walusimbi mutabani wa Prossy Nakalyango omu ku batuuze b’omu Lusanja abagobaganyizibwa omugagga Medard Kiconco era yakubiddwa akatayimbwa ku mutwe n’okumusambasamba ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro bwe yabadde ava ku mirimu gye mu katale ka St. Balikuddembe akamanyiddwa nga Owino mu Kampala.

Omugagga Kicoco
Omugagga Kicoco

Omu ku batuuze ategerekeseeko erya Jooga agambye nti, “abasajja 3 baafubutuse mu nsiko ne batandika okumukuba, baamukubye bakira bamubuuza lwaki ye ne nnyina tebava ku nsonga za ttaka lya mu Lusanja era babadde balowooza nti bamusse, kwekudduka”.

Poliisi eyabadde erawuna ekitundu, baasobodde okutaasa Walusimbi era yatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujanjabi oluvannyuma gye yaggyiddwa n’atwalibwa mu ddwaaliro ly’e Kiruddu okujanjabwa obulungi.

Abatuuze bagamba nti wadde omugagga Kicoco amaliridde okubanyigiriza, tebageenda kuva ku ttaka lyabwe.

Ekifaananyi kya Bukedde