Poliisi mu ggwanga erya South Africa eguddewo fayiro y’omusango gw’obutemu n’obubbi ku bantu abenyigidde mu kutta Sibusiso Kwinana abadde omuzannyi wa firimu. Kwinana yafumitiddwa ebiso ebyamuttiddewo olunnaku Olwokutaano mu kibuga Pretoria era bangi ku bannansi mu kiseera kino bali mu maziga. Kwinana attiddwa mu bukambwe ku myaka 25 era abadde amanyikiddwa mu firimu ezenjawulo omuli […]
Poliisi mu ggwanga erya South Africa eguddewo fayiro y’omusango gw’obutemu n’obubbi ku bantu abenyigidde mu kutta Sibusiso Kwinana abadde omuzannyi wa firimu.
Kwinana yafumitiddwa ebiso ebyamuttiddewo olunnaku Olwokutaano mu kibuga Pretoria era bangi ku bannansi mu kiseera kino bali mu maziga.
Kwinana attiddwa mu bukambwe ku myaka 25 era abadde amanyikiddwa mu firimu ezenjawulo omuli Matwetwe.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga erya South Africa, Captain Mavela Masondo agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza abatemu bakwatibwe bavunaanibwe era agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu nnyo.
Kigambibwa Kwinana yalumbiddwa abazigu okubba ebintu ebyenjawulo omuli ssente, amassimu n’ebintu ebirala kyokka ekyembi nattibwa mu bukambwe.