TUBIKOOYE! Mutuule ne Kagame mugonjoole ensonga mu bwangu, Minisita atabukidde Pulezidenti Museveni mu lwatu

©GALAXY

Bya Nalule Aminah Minisita w’ensonga z’ebweru mu Gavumenti ya Dr Kizza Besigye eya People Gavumenti, Atikson Katushebe asabye abakulembeze bombi okutuula omuli owa Uganda Yoweri Kaguta Museveni n’owe Rwanda Paul Kagame, bagonjole ensonga zaabwe okusinga okudda mu kwerumaluma. Katushebe agamba nti mu kiseera kino, abasuubuzi bafiiriddwa ennyo ensimbi zaabwe olwa Gavumenti ye Rwanda, okugala ezimu […]


Bya Nalule Aminah

Minisita w’ensonga z’ebweru mu Gavumenti ya Dr Kizza Besigye eya People Gavumenti, Atikson Katushebe asabye abakulembeze bombi okutuula omuli owa Uganda Yoweri Kaguta Museveni n’owe Rwanda Paul Kagame, bagonjole ensonga zaabwe okusinga okudda mu kwerumaluma.

Katushebe agamba nti mu kiseera kino, abasuubuzi bafiiriddwa ennyo ensimbi zaabwe olwa Gavumenti ye Rwanda, okugala ezimu ku nsalo omuli Katuna ne Chanika.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya People Gavumenti e Katonga, Katushebe agambye nti Museveni ne Kagame bali nga baluganda, basobola okutuula ne bagonjoola ensonga kuba ziyinza okuvaamu okuyuwa omusaayi.

 Katushebe mu kwogerako eri bannamawulire

Katushebe mu kwogerako eri bannamawulire

Minisita Katushebe okuvaayo, kidiridde Rwanda okugala ensalo sabiti ewedde ku lunnaku Olwokuna era mu kiseera kino, abasuubuzi bannayuganda basobeddwa eka ne mu kibira olw’emmaali yaabwe okutandiika okwonooneka omuli ebyennyanja, muwogo n’ebintu ebirala.

Ye Minisita w’ensonga z’ebweru e Rwanda Dr. Richard Sezibera yagambye bannamawulire e Kigali ku Lwokubiri, nti eby’okuggalwa kw’ensalo, tebisaanidde kutabulwamu bintu birala Rwanda by’evunaana Uganda.

Sezibera era agamba nti Abanyarwanda bangi abali makkomera agenjawulo mu Uganda ku misango egitamanyiddwa wabula kikolebwa okutyoboola eddembe lyabwe.

Rwanda egamba nti eky’okuggala ensalo kigenda kumala emyezi ebiri era tekisaanidde kutabulwatabulwa n’obutakkaanya bwe balina ne Uganda obuva ku kutulugunya bannansi baabwe, okusirikira ababayeekera, okudobonkanya ebyenfuna byaabwe n’okuvirako obutakaanya wakati waabwe n’eggwanga erya South Africa.