Omusomesa w’e Makerere, Dr. Stella Nyanzi alombozze ennaku gyalabidde mu kkomera e Luzira okuva omwaka oguwedde ogwa 2018 mu November. Nyanzi avunaanibwa okuvvoola erinnya ly’omukulembeze w’eggwanga, Pulezidenti Yoweri Museveni, ne maamawe, omugenzi Esteri Kokundeka, ng’ayita ku mikutu gya yintanenti. Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu yabadde mu kkooti mu Kampala ku misango gya yunivaasite y’e Makerere okugaana […]
Omusomesa w’e Makerere, Dr. Stella Nyanzi alombozze ennaku gyalabidde mu kkomera e Luzira okuva omwaka oguwedde ogwa 2018 mu November.
Nyanzi avunaanibwa okuvvoola erinnya ly’omukulembeze w’eggwanga, Pulezidenti Yoweri Museveni, ne maamawe, omugenzi Esteri Kokundeka, ng’ayita ku mikutu gya yintanenti.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu yabadde mu kkooti mu Kampala ku misango gya yunivaasite y’e Makerere okugaana okumuzza ku mulimu.
Kinajjukirwa nti Nyanzi , yayimirizibwa ku mulimu gw’obunoonyereza ku yunivaasite y’e Makerere, olw’ebigambibwa nti yali yeeyisizza mungeri emutyoboola.
Kyaddirira ono okweyambulamu engoye ng’afunye obutakkaanya ne mukamaawe, Polofeesa Mahmood Mamdani.
Wabula Dr Nyanzi agamba nti mu kkomera e Luzira abakyala bali mu mbeera mbi nnyo omuli okulumwa ensekere n’ebiku omubiri gwonna omuli n’ebitundu by’ekyama.
Mungeri y’emu agambye nti ensiri zisukkiridde, ekiviriddeko abasibe okulwala ennyo ne kabuyonjo zajjula dda.
Dr Nyanzi era agambye nti embeera gye basulamu, kiwadde omukisa ebisiyaga okweyongera mu kkomera era asabye minisita w’okukwasisa empisa Faaza Simon Lukodo okulondoola ensonga eyo kuba embeera eri mu kkomera, ebisiyaga biyinza okweyongera.