Halima Namakula abamu gwe bayita Ssenga w’omuyimbi Rema Namakula alabudde bannayuganda okukomya okuyingirira obufumbo bwa Rema ne bba Eddy Kenzo (Eddirisa Musuuza). Halima eyakuyimbira ‘Ekimbeewo” agamba nti Rema ne Kenzo bonna bantu bakulu era bakoze buli kimu okuwangaza omukwano gwabwe kyokka Bannayuganda balemeddeko, okubatwalira amawulire agenjawulo okubatabula. Mu kwogerako naffe, Halima agamye nti, ” Nze […]
Halima Namakula abamu gwe bayita Ssenga w’omuyimbi Rema Namakula alabudde bannayuganda okukomya okuyingirira obufumbo bwa Rema ne bba Eddy Kenzo (Eddirisa Musuuza).
Halima eyakuyimbira ‘Ekimbeewo” agamba nti Rema ne Kenzo bonna bantu bakulu era bakoze buli kimu okuwangaza omukwano gwabwe kyokka Bannayuganda balemeddeko, okubatwalira amawulire agenjawulo okubatabula.
Mu kwogerako naffe, Halima agamye nti, ” Nze newuunya, abantu okulingiriza Rema ne Kenzo ku nzonga z’omu maka gaabwe, mutwala ebigambo nga Kenzo bw’alina abawala abenjawulo, oba mwagala ki, mwesonyiwe Rema ne Kenzo kuba ensonga zaabwe tezibakwatako, mubalekere emirembe“.

Mungeri y’emu agambye nti, “Kenzo musajja mulungi nnyo kuba alina eddiini, nze nalabula Rema okufuna omusajja ow’eddiini ye, ekirungi yafuna Kenzo, bonna basiramu era ensonga zaabwe balina kuzikwasa Allah“.
Halima y’omu ku bantu ababaddewo mu nsonga za Rema ne Kenzo okuva ku ntandikwa ya laavu yaabwe era kigambibwa, Halima ye yapikiriza Rema okwagala Kenzo wadde waaliwo n’abasajja abalala abaali bamwegwanyiza omwali n’abagagga.
Ku kabaga ka Rema akamu ak’amazaalibwa, Halima eyayogera ku lw’abazadde ba Rema yasaba Kenzo atongoze Rema ng’omukyala ng’amuwoowa n’okwanjulibwa. We yayogerera bino nga waliwo ebigambibwa nti Kenzo alinayo omuwala omulala gw’aganza.
Kenzo bwe yabuuzibwa ku ky’okutongoza Rema nga mukyala we yategeeza nti akirowoozaako era ajja kukikola.