AKIMUKOZE! Zari ali mu maziga, Platnumz amusindikidde obubaka obukambwe, Tanasha Donna ali mu ssannyu, alindiridde olunnaku lwokka

©GALAXY

Omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti wadde Zari Hassan yamusuulawo, aky’alina emikisa gy’okufuna ssente okulya obulamu. Mu nsi y’omukwano, singa abaagalana baawukana, omukyala ayagaliza nnyo omusajja embeera okumwononekera n’okusingira ddala mu byenfuna okusobola okwejjusa ate n’abasajja abamu basabirira omukyala ebintu okumutabukako, okusobola okudda mu bufumbo. Mu mbeera eyo, Platnumz asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga obukadde […]


Omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti wadde Zari Hassan yamusuulawo, aky’alina emikisa gy’okufuna ssente okulya obulamu.

Mu nsi y’omukwano, singa abaagalana baawukana, omukyala ayagaliza nnyo omusajja embeera okumwononekera n’okusingira ddala mu byenfuna okusobola okwejjusa ate n’abasajja abamu basabirira omukyala ebintu okumutabukako, okusobola okudda mu bufumbo.

Zari Hassan
Zari Hassan

Mu mbeera eyo, Platnumz asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga obukadde n’obukadde bwa ssente ezimuweereddwa mu ggwanga erya France mu kibuga Paris oluvanyuma lw’okuyimbira abantu.

Tanasha Donna Oketch
Tanasha Donna Oketch

Mu kiseera kino, omuwala Tanasha Donna Oketch muganzi wa Platnumz mu ggwanga erya Kenya ali mu ssannyu kuba alindiridde bba olunnaku lwakomawo, okulya obulamu kuba ssente weeri.

Abamu ku bantu ku mukutu ogwa Instagram bagamba nti Zari ali mu maziga n’okwejjusa okulekawo Platnumz kuba singa mu kiseera kino yesuunga bba okuleeta ensimbi okulaga eswagga.

View this post on Instagram

A post shared by SIMBA..!🦁 (@diamondplatnumz)