Nze mwewulira era 2021 alina okugenda, Bobi Wine awadde abantu enseko, bw’alangiridde obukodyo okuggya Museveni mu buyinza

©GALAXY

Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alangiridde nti 2021 alina okuggya Ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza. Bobi Wine bw’abadde ku mukolo omubaka we Mityana Zaake Francis Butebi okwebaza Omutonzi obulamu bwamuwadde n’okusomoozebwa kwonna kwabaddemu, kwekutegeeza nti obuyinza bulina okukyuka mu […]


Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine alangiridde nti 2021 alina okuggya Ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza.

Bobi Wine bw’abadde ku mukolo omubaka we Mityana Zaake Francis Butebi okwebaza Omutonzi obulamu bwamuwadde n’okusomoozebwa kwonna kwabaddemu, kwekutegeeza nti obuyinza bulina okukyuka mu 2021.

Mungeri y’emu agambye nti Museveni amwewulira kuba akikirira ebitundu 80% eby’abantu mu ggwanga n’okusingira ddala abavubuka.
Bobi Wine era asabye bannayuganda buli omu okukola omulimu gwe omuli bannadiini, abakulembeze abenjawulo n’abantu bonna, okusobola okuggya Museveni mu buyinza.