Omuyimbi Rema Namakula agumizza bba Eddy Kenzo ku nsonga z’omukwano gwaabwe wakati mu kusomozebwa okuva mu bantu abenjawulo. Kigambibwa Rema amanyikiddwa okweyambisa ennyimba okutegeeza abantu ebigenda mu maaso wakati we ne bba Kenzo era mu mbeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki mbu yafulumya oluyimba Siri Muyembe. Okusinzira ku bigambo ebiri mu luyimba ‘Siri Muyembe’, kiraga […]
Omuyimbi Rema Namakula agumizza bba Eddy Kenzo ku nsonga z’omukwano gwaabwe wakati mu kusomozebwa okuva mu bantu abenjawulo.
Kigambibwa Rema amanyikiddwa okweyambisa ennyimba okutegeeza abantu ebigenda mu maaso wakati we ne bba Kenzo era mu mbeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki mbu yafulumya oluyimba Siri Muyembe.
Okusinzira ku bigambo ebiri mu luyimba ‘Siri Muyembe’, kiraga nti waliwo obutakaanya wakati we ne Kenzo, kwekusalawo okweyambisa oluyimba okutegeeza bba nti tebitambula bulungi wakati waabwe.
Mu kiseera kino, Rema essaawa yonna agenda kufulumya vidiyo y’oluyimba “Be with You”.
Abamu ku bannayuganda bagamba nti ebigambo ebiri mu luyimba lwo, kabonero akalaga nti Kenzo asobodde okutereeza amaka, laavu yakomyewo, ekiwadde Rema essannyu okumuyimbira akayimba n’okumugumya nti tewali ayinza kubaawula.