KITALO! Kyaddaki Poliisi ekakasizza munnayuganda omusirikale CP Alalo yeyafiiridde mu kabenje k’ennyonyi

©GALAXY

Poliisi efulumizza ekiwandiiko ekiraga nti munnayuganda omusirikale Commissioner of Police (CP) Alalo Christine yeyafiiridde mu kabenje k’ennyonyi olunnaku olw’eggulo ku Ssande mu ggwanga erya Ethiopia. Omusirikale Alalo yasindikibwa okutambuza emirimu mu kibiina ekigatta amawanga ga Afrika ekya African Union (AU) era kikakasiddwa yabadde ku nnyonyi eyagudde ekigwo, nga yaakamala, eddakiika mukaaga (6) zokka mu bwengula. […]


Poliisi efulumizza ekiwandiiko ekiraga nti munnayuganda omusirikale Commissioner of Police (CP) Alalo Christine yeyafiiridde mu kabenje k’ennyonyi olunnaku olw’eggulo ku Ssande mu ggwanga erya Ethiopia.

Omusirikale Alalo yasindikibwa okutambuza emirimu mu kibiina ekigatta amawanga ga Afrika ekya African Union (AU) era kikakasiddwa yabadde ku nnyonyi eyagudde ekigwo, nga yaakamala, eddakiika mukaaga (6) zokka mu bwengula.

Ennyonyi yabaddeko abasaabaze 149 n’abakozi munaana (8), era yabadde yakava ku kisaawe ekikulu ekya Bole mu kibuga Adis Ababa ng’edda mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi.

Fred Enanga
Fred Enanga

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Fred Enanga agambye nti omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola alagidde omusawo wa poliisi Dr. Moses Byaruhanga okugenda mu ggwanga erya Ethiopia okulemberamu okunoonya ebisigalira bya Alalo ng’ayambibwako aba famire.