BITABUSE! Poliisi efulumizza ekiwandiiko ekikambwe ku Munnayuganda eyafiiridde mu kabenje k’ennyonyi ya Ethiopia, ereese bwiino yenna

©GALAXY

Poliisi tenafuna bukakafu bwonna obulaga nti omusirikale Munnayuganda Commissioner of Police (CP) Alalo Christine y’omu ku bantu abaafiiridde mu kabenje k’ennyonyi olunnaku olw’eggulo ku Ssande mu ggwanga erya Ethiopia. CP Alalo yasindikibwa okumyuka adduumira Poliisi mu kibiina ekigatta amawanga ga Afrika ekya African Union era kigambibwa yabadde ku nnyonyi ya Ethiopian Flight, ET 302 eyagudde […]


Poliisi tenafuna bukakafu bwonna obulaga nti omusirikale Munnayuganda Commissioner of Police (CP) Alalo Christine y’omu ku bantu abaafiiridde mu kabenje k’ennyonyi olunnaku olw’eggulo ku Ssande mu ggwanga erya Ethiopia.

CP Alalo yasindikibwa okumyuka adduumira Poliisi mu kibiina ekigatta amawanga ga Afrika ekya African Union era kigambibwa yabadde ku nnyonyi ya Ethiopian Flight, ET 302 eyagudde ekigwo nga yaakamala eddakiika mukaaga zokka mu bwengula.

Ennyonyi yabadde ava ku kisaawe ekikulu ekya Bole mu kibuga Adis Ababa ng’edda Nairobi mu Kenya era yabaddeko abasaabaze okuva mu nsi 33 omuli Uganda, Kenya, Canada n’amawanga amalala.

CP Alalo
CP Alalo

Kkampuni ya Ethiopian Airlines yagambye nti omugoba waayo yabadde agezaako kugiweta akomewo ku kisaawe era ng’akkiriziddwa wabula tekyasobose. Yatuntumuse omuliro omulundi gumu n’eryoka yeerindiggula ekigwo.

Ennyonyi yabaddeko abasaabaze 149 n’abakozi munaana.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti baakitegeddeko nti omusirikale waabwe yabadde mu ggwanga erya Italy nga yabadde alina okudda mu ggwanga erya Somalia olunnaku olw’eggulo kyokka tekimanyiddwa oba yabadde ku nnyonyi.

Enanga agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ebisingawo ku musirikale waabwe era asuubizza okutegeeza eggwanga singa bafuna amawulire gonna ku musirikale CP Alalo.

Mu lungereza, Enanga agambye bwati, “The Police would like to inform the general public that the information circulating on social media that Commissioner of Police, Alalo Christine, who is serving under the African Union, as Deputy Police Commissioner, is the sole Ugandan victim, on the Ethiopian Flight, ET 302, that crashed this morning killing all passengers and 8 crew members, is still not confirmed. We are aware the senior officer traveled to Italy and was scheduled to return to her duty station, in Somalia today. The Director Peace Support Operations, who coordinates all Peace keeping activities, is in touch with our Liaison Officers in Nairobi, Kenya, and in Somalia; and is yet to obtain any information surrounding the status of our Senior Officer, through the Office of the Senior Resident Commissioner, AMISOM. The Police will quickly share any information upon obtaining details from either her duty station and or the management of Ethiopian Airlines, who have not availed any details. We continue to pray and hope for good news and kindly request the public and in particular her family to remain calm as we wait for any new developments“.

Abafudde okusinzira ku mawanga gaabwe