Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa Fiona Shiela Angura ayimbudde kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ez’obuliwo, munnansi wa Rwanda Ishimye Moses Lutale. Lutale aleese abantu 2 okumweyimirira era omulamuzi buli omu, amusabye obukadde 10 ezitali za buliwo era Gavumenti ekirizza ebiwandiiko byabwe. Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Justine Feni, Lutale ali ku misango […]
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa Fiona Shiela Angura ayimbudde kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ez’obuliwo, munnansi wa Rwanda Ishimye Moses Lutale.
Lutale aleese abantu 2 okumweyimirira era omulamuzi buli omu, amusabye obukadde 10 ezitali za buliwo era Gavumenti ekirizza ebiwandiiko byabwe.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Justine Feni, Lutale ali ku misango gy’okuyingira mu ggwanga mu ngeri emenya amateeka n’okusigalamu nga 26th October 2018, era okuyingira mu ggwanga yakozesa ensalo y’e Katuna.
Lutale baamukwatira wabweru wa offiisi ya CMI Bugolobi nga talina kiwandiiko kyonna ekimukkiriza okubeera mu Uganda.
oluvudde mu kkooti, munnamateeka we Daniel Walyemera, agambye nti omuntu we, yali agenda kusaba mu kiseera we bamukwatira.
Omusango gw’ongezeddwaayo okutuusa nga 1, omwezi ogujja ogw’okuna.