Bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), balabudde okufafaagana n’abantu abatandiise okubakolako effujjo nga befudde, abasibuka mu mu kisinde kya ‘People Power’, ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine. Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina ekyo, Ibrahim Ssemujju Nganda, abantu bonna abeetegese okuddamu okulumba bamemba b’ekibiina kya FDC, nga bwe […]
Bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), balabudde okufafaagana n’abantu abatandiise okubakolako effujjo nga befudde, abasibuka mu mu kisinde kya ‘People Power’, ekikulemberwa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.
Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina ekyo, Ibrahim Ssemujju Nganda, abantu bonna abeetegese okuddamu okulumba bamemba b’ekibiina kya FDC, nga bwe kyakoleddwa ku Dr Kizza Besigye ku Bulange e Mmengo, mu bitundu bye Jinja, Gulu n’ebitundu ebirala, babikooye.

Ssemujju bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjankumbi, agambye nti bakooye abakola emivuyo n’effujjo ku bamemba b’ekibiina era bategese bulungi nnyo okwengaanga omuntu yenna.
Mungeri y’emu agambye nti balina amawulire nti abamu ku bavubuka abakola ffujjo, basindikibwa ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) nga befudde aba People Power okusobola okuleeta enjawukana mu b’oludda oluvuganya Gavumenti.
Eddoboozi lya Ssemujju