ESSANNYU! Bobi Wine abuulidde mukyala we Barbie amazima mu lwatu, amusuubizza okutuukiriza buli kimu

©GALAXY

Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine awadde ezimu ku nsonga lwaki alina okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021, okuggya ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza. Kinnajjukirwa nti Bobi Wine bwe yali yebaza abalonzi b’e Kyadondo East okumulonda okutwala […]


Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine awadde ezimu ku nsonga lwaki alina okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021, okuggya ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza.

Kinnajjukirwa nti Bobi Wine bwe yali yebaza abalonzi b’e Kyadondo East okumulonda okutwala ensonga zaabwe mu Palamenti, bwe yali katuuti, yebaza mukyala we Barbie Itungo okumubeererawo, namusuubizza nti alina okumufuula ‘First Lady’ mu Uganda.

Sabiti ewedde, Bobi Wine bwe yali ku NTV mu Pulogulamu “On The Spot” ekubirizibwa Patrick Kamara  yabuuziddwa ku nsonga eyo.

Patrick Kamara ne Bobi Wine
Patrick Kamara ne Bobi Wine

Mu kwanukula Bobi Wine yagambye nti alina ensonga mpitirivu nnyo lwaki alina okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2021 okuggya Museveni mu buyinza omuli okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bavubuka, obuli bw’enguzi, okomyawo obwenkanya mu bantu n’ensonga endala.

Mungeri y’emu yagambye nti mukyala we Barbie akoze nnyo mu kukyusa obulamu bwe mu ngeri ezenjawulo era tekirimu sitaani okutukiriza kyeyasuubiza okumufuula ‘First Lady’ wa Uganda.

Bobi Wine agamba nti okusinzira ku mbeera eri mu ggwanga omuli n’okwagala okumutta kyokka ne battamu Yasin Kawuma eyali dereeva we mu bitundu bye Arua, alina okwenyigiramu okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga kuba alina ebisanyizo byonna.