KANYABO! Muka Mbuga Vivienne ayolekedde okuvundira mu kkomera, omulamuzi agobye okusaba kwe

©GALAXY

Bya Nalule Aminah Omulamuzi wa kkooti ewozeza abalyake n’abakenuzi mu Kampala Margret Tibulya agobye okusaba kw’omukyala Angella Vivienne Chebet muka Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga kwe yateekayo ng’asaba okweyimirirwa. Mu kkooti, Vivienne aleese abantu 5 okumweyimirira omuli Judith Kabaale, mukwano gwe Bridget Kiggundu, taata we omuto, Ismail Lwanga, mukulu we Sarah Kaweesa ne […]


Bya Nalule Aminah

Omulamuzi wa kkooti ewozeza abalyake n’abakenuzi mu Kampala Margret Tibulya agobye okusaba kw’omukyala Angella Vivienne Chebet muka Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga kwe yateekayo ng’asaba okweyimirirwa.


Mu kkooti, Vivienne aleese abantu 5 okumweyimirira omuli Judith Kabaale, mukwano gwe Bridget Kiggundu, taata we omuto, Ismail Lwanga, mukulu we Sarah Kaweesa ne nnyina omuto Betty Kayiwa.
Wabula omulamuzi agambye nti, abantu baleese bonna sibamuzinzi.
Mungeri y’emu agambye nti singa ayimbulwa, ayinza okudduka mu ggwanga nga bwe kyali mu ggwanga erya Sweden gye basooka okumukwatira.

Ensalawo y’omulamuzi Tibulya, esomeddwa omulamuzi w’eddaala erisooka Pamela Lamunu


Ku nsonga eyo, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Harriet Angom, lusabye omulamuzi, Vivienne okumuzaayo ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga bakomekereza okunoonyereza.


Omulamuzi akiriziganyiza n’oludda oluwaabi era Vivienne aziddwayo ku limanda, okutuusa nga 27, March, 2019.

Vivienne avunaanibwa okukozesa olukujukuju n’agya ssente munnansi wa Sweden eziri mu buwumbi ng’amusuubiza okumuguza ‘Gold’, ekintu kyataakola.