Munnamawulire wa NBS TV Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats alangiridde nti talina mukyala mu kiseera kino era anoonya. MC Kats abadde alina esuubi nti mukyala we omuyimbi Fille Mutoni ayinza okumuddiramu okudda mu bufumbo kuba balina omwana kyokka kirabika aweddemu esuubi. Mu nsi y’omukwano, obutakwatagana bulina okubaamu era mu mbeera eyo, Fille ne bba […]
Munnamawulire wa NBS TV Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats alangiridde nti talina mukyala mu kiseera kino era anoonya.
MC Kats abadde alina esuubi nti mukyala we omuyimbi Fille Mutoni ayinza okumuddiramu okudda mu bufumbo kuba balina omwana kyokka kirabika aweddemu esuubi.

Mu nsi y’omukwano, obutakwatagana bulina okubaamu era mu mbeera eyo, Fille ne bba MC Kats baafuna obutakwatagana ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2018 era oluvannyuma ne bawukana.
Ng’omusajja, waaya ebanja kuba erina okulisibwa buli wiiki ate kirabika Fille simwetegefu kuddamu kugiwa mukisa.
Olunnaku olw’eggulo, MC Kats yabadde awerekeddeko Ykee Benda ku YMCA e Wandegeya okulanga Konsati ye nga 29th March, 2019.

Omu ku baana kwekubuuza Ykee Benda oba alina omukyala, Benda mu mukwanukula yagambye nti, “sirina mukyala era noonya”.
Amangu ddala MC Kats yasobodde okweyambisa omukisa ogwo, okulangirira nti naye talina mukyala era anoonya era oluvanyuma yalabiddwako nga byanabiwala ebyamyuka ebithambi ng’amatungulu bimwetoolodde ssaako okumuyita erinnya mu ngeri y’okusomooza, “Kats, Kats, Kats, selfie naawe”.