Kkooti y’e Wakiso erangiridde nga 27, omwezi gunno, okusindiika mu kkooti enkulu, abantu babiri (2) abakwatibwa ku by’okutemula eyali aduumira Poliisi y’e Buyende Afande Muhhamed Mirumira, okuwerenemba n’emisango gy’obutemu. Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Miriam Kamushabe lutegezeezza omulamuzi wa kkooti ye Wakiso Noah Ssajjabbi nti bakomekereza okunoonyereza kwabwe, ng’abasibe bateekeddwa okusindikibwa mu kkooti enkulu okutandiika okwewozaako. […]
Kkooti y’e Wakiso erangiridde nga 27, omwezi gunno, okusindiika mu kkooti enkulu, abantu babiri (2) abakwatibwa ku by’okutemula eyali aduumira Poliisi y’e Buyende Afande Muhhamed Mirumira, okuwerenemba n’emisango gy’obutemu.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Miriam Kamushabe lutegezeezza omulamuzi wa kkooti ye Wakiso Noah Ssajjabbi nti bakomekereza okunoonyereza kwabwe, ng’abasibe bateekeddwa okusindikibwa mu kkooti enkulu okutandiika okwewozaako.
Bbo, abasibe bategeezezza nti kyewunyisa okuba nga bbo abatalina wadde akakwate ku ttemu eryakolebwa, okutandiika okubatulugunya kyokka nga Gavumenti emanyi abantu abatuufu abenyigira mu ttemu eryo.
Oludda oluwaabi lugamba nti Abubakar Kalungi, Hamuza Mwebe n’abakyaliira ku nsiko nga, 8, September, 2018 bakuba Kirumira amasasi agamuttirawo ne mukwano gwe Resty Nalinnya Mbabazi e Bulenga ku luguudo lwa Kampala – Mityana.