Kyaddaki Zari ayogedde ekibadde ku mutima gwe, Tanasha Donna ne Platnumz balina okwejjusa kuba abakubye bbomu

©GALAXY

Zari Hassan y’omu ku bakyala mu East Africa abantu baangi gwe begomba n’okusingira ddala abasajja. Zari yazaalibwa nga 23, September, 1980 era aweza emyaka 38 kyokka y’omu ku bakyala abakuumye omutindo. Omulimu gwe tegumanyiddwa bulungi kyokka y’omu ku bakyala abalina ku ssente, mukyala muzadde era alina abaana 5, 3  yabazaala mu mugenzi Ivan Semwanga ate […]


Zari Hassan y’omu ku bakyala mu East Africa abantu baangi gwe begomba n’okusingira ddala abasajja.

Zari yazaalibwa nga 23, September, 1980 era aweza emyaka 38 kyokka y’omu ku bakyala abakuumye omutindo.

Omulimu gwe tegumanyiddwa bulungi kyokka y’omu ku bakyala abalina ku ssente, mukyala muzadde era alina abaana 5, 3  yabazaala mu mugenzi Ivan Semwanga ate 2 mu muyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz.

Zari mu ngeri y’okuyamba abantu, asobodde okweyambisa emikutu gye, omuli Face Book, Twitter, Instagram okuwa abantu amagezi engeri gye bayinza okukyusa obulamu.

Zari, Platnumz ne Tanasha
Zari, Platnumz ne Tanasha

Ku Instagram, Zari agambye nti, olina okuba ky’oyagala okubeera, abalala singa tebakyagala, olina okubesonyiwa. olina okusalawo okuba omusanyufu, obulamu obulungi ssi kusikiriza bantu bonna, “Be who you wanna be. If others don’t like it, then let them be. Happiness is a choice. Life isn’t about pleasing everybody…. aiiight”.

Abamu bagambye nti ebigambo bya Zari wadde biwa abantu bangi eky’okuyiga, ebimu abyogera okusindika obubaka eri muggya we Tanasha Donna Oketch kuba yamutwalira omusajja.

Mu kiseera kino Tanasha Donna ne Platnumz balina okwejjusa kuba abakubye bbomu okulaga nti wadde yayawukana ne bba (Platnumz) akyalina essannyu ng’omuntu kuba Platnumz yamusanga mukyala mukulu.

https://www.instagram.com/p/Bu32XG1H35i/