Omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi mu Kampala Margret Tibulya enkya ya leero asuubirwa okuwa ensala ye kukusaba kwa Angella Vivienne Chebet muka SK Mbuga okweyimirirwa. Vivienne avunaanibwa okukozesa olukujukuju n’agya ssente ku eyali bba, Omungereza Heinsoo mu bukadde obusukka mu 400. Mu kkooti, munnamateeka wa Vivienne Emmanuel Wamimbi yawa omulamuzi ensonga ezenjawulo lwaki Vivienne […]
Omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi mu Kampala Margret Tibulya enkya ya leero asuubirwa okuwa ensala ye kukusaba kwa Angella Vivienne Chebet muka SK Mbuga okweyimirirwa.
Vivienne avunaanibwa okukozesa olukujukuju n’agya ssente ku eyali bba, Omungereza Heinsoo mu bukadde obusukka mu 400.
Mu kkooti, munnamateeka wa Vivienne Emmanuel Wamimbi yawa omulamuzi ensonga ezenjawulo lwaki Vivienne agwanidde okweyimirirwa.
Munnamateeka Wamimbi agamba nti SK Mbuga ali mu nkomyo mu ggwanga erya Sweden nga singa agattako Vivienne ali ku limanda mu kkomera e Luzira, kigenda kukosa nnyo abaana kuba omwana Aliana Mbuga atawaanyizibwa obulwadde ba asima nga yeetaaga okulabirira mu mbeera ennungi nga nnyina yekka y’asobola okukitukirizza.
Vivienne yaleeta abantu bataano (5) okweyimirira omuli Judith Kabaale, mukwano gwe Bridget Kiggundu, taata we omuto, Ismail Lwanga, mukulu we Sarah Kaweesa ne nnyina omuto Betty Kayiwa.
Wabula oludda oluwaabi luwakanya okusaba kwa muka Mbuga Vivienne kuba singa ayimbulwa, ayinza okudduka mu ggwanga kuba pasipooti ye eya Uganda teraga ngeri gye yakomawo mu ggwanga ate ng’eya Sweden gye yali akozesa yawambibwa ab’obuyinza mu ggwanga erya Sweden.
Oludda oluwaabi era lugamba nti tewali bukakafu nti ku mulundi guno kkooti bw’ekkiriza ne yeeyimirirwa tadduke nga bwe yakola mu ggwanga lya Sweden gye yasooka okuvunaanibwa.
Emisango egimuvunaanibwa singa gimusinga ekibonerezo kiba kyakusibwa myaka egisukka mu 15 oba okutanzibwa obuwumbi obusukka mu bubiri (2).
Omulamuzi, yasigadde olunnaku olwaleero okusalawo.