Ssaabavvulu Balaam Barugahare abikudde ekyama nti mu Uganda, tewali muyimbi yenna asinga ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyimba. Balaam agamba nti mu kiseera kino Museveni alina ennyimba ezisukka 6 era essaawa yonna agenda kuzitongoza. Agamba nti Museveni alina talenti eyenjawulo era y’emu ku nsonga lwaki mu […]
Ssaabavvulu Balaam Barugahare abikudde ekyama nti mu Uganda, tewali muyimbi yenna asinga ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyimba.
Balaam agamba nti mu kiseera kino Museveni alina ennyimba ezisukka 6 era essaawa yonna agenda kuzitongoza.
Agamba nti Museveni alina talenti eyenjawulo era y’emu ku nsonga lwaki mu Uganda asinga abayimbi bonna okuyimba omuli Jose Chameleone, ab’e Kamwokya n’abalala.
Balaam agamba nti, “Museveni muyimbi mulungi nnyo ali mu category ya Kanye West, omugenzi Michael Jackson ssi Chameleone ate Museveni ayimbi mu ngeri ezenjawulo, you wait for his album ssi one hit maker nga bwemulowooza, abayimbi baffe abaawano ba backup artist, actually mu album empya gye tulina, abayimbi bamwe be mulina omuli ab’e Kamwokya ba backup artist“.
Ebigambo bya Balaam kabonero akalaga nti wadde Chameleone, Bobi Wine, Bebe Cool, Sheebah Kalungi, Eddy Kenzo, Rema Namakula n’abalala bakoze nnyo mu kisaawe ky’okuyimba, Museveni akyabasingira wala nnyo.
Eddoboozi lya Balaam