Omubaka wa Buyaga West mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Barnabas Tinkasiimire agambye nti wadde yagobeddwa mu ttabamiruka w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) eyatandise olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu e Kyankwanzi, ssentebbe w’ekibiina Yoweri Kaguta Museveni tagwanidde kuddamu kwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021. Tinkasiimire agamba nti Mukulu Museveni alemeddwa, okukyusa eggwanga mu nsonga […]
Omubaka wa Buyaga West mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Barnabas Tinkasiimire agambye nti wadde yagobeddwa mu ttabamiruka w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) eyatandise olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu e Kyankwanzi, ssentebbe w’ekibiina Yoweri Kaguta Museveni tagwanidde kuddamu kwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021.
Tinkasiimire agamba nti Mukulu Museveni alemeddwa, okukyusa eggwanga mu nsonga ezenjawulo omuli okulwanyisa ebbula ly’emirimu era tewali galanti nti singa ddamu nalondebwa ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021, anaakola ku nsonga z’abantu.
Mungeri y’emu agambye nti Pulezidenti Museveni abadde yenyigira mu kubba akalulu naye 2021 alina okuva mu buyinza kuba Bannayuganda bakooye obukulembeze bwe era betegefu nnyo okujjumbira okulonda okumuggya mu ntebbe.
Eddoboozi lya Tinkasiimire