Ab’ekitongole kya Poliisi mu ggwanga n’ekiramuzi basaanyizzaawo ebiragalalagala eby’enjawulo ebizze bikwatibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe mu disitulikiti y’e Wakiso. Ebisaanyiziddwawo bibalirirwamu obukadde bwa ddoola bubiri n’emitwalo nga kinaana era bazze babikung’aanya okuva mu 2015. Omulimu gw’okwokya ebiragalalagala gwakulembeddwamu, amyuka addumira Poliisi mu ggwanga Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi wali e Nsambya Police Barrack. Maj. Gen. […]
Ab’ekitongole kya Poliisi mu ggwanga n’ekiramuzi basaanyizzaawo ebiragalalagala eby’enjawulo ebizze bikwatibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ebisaanyiziddwawo bibalirirwamu obukadde bwa ddoola bubiri n’emitwalo nga kinaana era bazze babikung’aanya okuva mu 2015.
Omulimu gw’okwokya ebiragalalagala gwakulembeddwamu, amyuka addumira Poliisi mu ggwanga Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi wali e Nsambya Police Barrack.
Maj. Gen. Muzeyi agamba nti Poliisi emaliridde okulwanyisa abantu bonna abeegumbulidde okutambuza enjaga n’ebiragalaragala era asabye bannayuganda okubakwasizaako okulwanyisa ebiragalaragala mu ggwanga.