Omuyimbi Fille Mutoni akiguddeko, atwaliddwa mu mbuga z’amateeka lwa kusiwuuka mpisa mu kisaawe ky’okuyimba. Fille y’omu ku bayimbi abakyala abaliko mu kiseera kino olw’ennyimba ze omuli Love Again, Left Over, Bye Bye Ex n’endala, ekimufudde omuyimbi ow’enjawulo mu ggwanga. Wabula wuuno omusajja avuddeyo okuva mu bitundu bye Hoima, atutte Fille mu mbuga z’amateeka lwa kugaana […]
Omuyimbi Fille Mutoni akiguddeko, atwaliddwa mu mbuga z’amateeka lwa kusiwuuka mpisa mu kisaawe ky’okuyimba.
Fille y’omu ku bayimbi abakyala abaliko mu kiseera kino olw’ennyimba ze omuli Love Again, Left Over, Bye Bye Ex n’endala, ekimufudde omuyimbi ow’enjawulo mu ggwanga.
Wabula wuuno omusajja avuddeyo okuva mu bitundu bye Hoima, atutte Fille mu mbuga z’amateeka lwa kugaana kuyimba mu kivvulu.
Omusajja agamba nti bakiriziganya ne Fille okuyimba kyokka yafiiriddwa ssente mpitirivu nnyo olw’obutayimba omuli okupangisa ekifo, okulanga ekivvulu era Fille byonna alina okubisasulira.