Bobi wine amuswazizza, ayanukudde Pulezidenti Museveni ku by’obufuzi mu bukambwe, awadde abavubuka enseko

©GALAXY

Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayanukudde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku by’obufuzi. Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde Pulezidenti Museveni bwe yali asisinkanyeko abavubuka okuva mu Divizoni zonna ezikola Kampala Nakawa, Central, Kawempe ne Lubaga ne Makindye mu maka g’obwa Pulezidenti Ntebbe, yewuunya abalonzi okulonda Bobi Wine kuba […]


Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayanukudde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku by’obufuzi.
Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde Pulezidenti Museveni bwe yali asisinkanyeko abavubuka okuva mu Divizoni zonna ezikola Kampala Nakawa, Central, Kawempe ne Lubaga ne Makindye mu maka g’obwa Pulezidenti Ntebbe, yewuunya abalonzi okulonda Bobi Wine kuba muyimbi.

Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Museveni yategeeza nti, “okuyimba ssi byabufuzi“, ekyawa abavubuka enseko.

Bobi Wine bwe yabadde atwalidde abatuuze b’omu Lusanja ensawo za sementi olunnaku olw’eggulo ku Ssande, yagambye nti, “Museveni tujja kumwanukula nga tufunye obudde bwe naye kati essaawa zinno bwendi mukulu njagala ensonga enkulu ze mba mpa amakulu“.