BITABUSE! Bryan White ayolekedde okuvundira mu kkomera, bamuguddeko omusango omukambwe mu kkooti, ssente zibizadde

©GALAXY

Bryan Kirumira amanyiddwa nga Bryan White atwaliddwa mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala lwa bbanja lya bukadde bwa ssente 135. Nnannyini kkampuni ekola weema (Tents) eya Majanja & Sons e Kireka, Ephraim Kirumira Majanja ng’ayita mu kkampuni ye eya Majanja & Sons Company Ltd agamba nti yawa Bryan White weema za bukadde bwa […]


Bryan Kirumira amanyiddwa nga Bryan White atwaliddwa mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala lwa bbanja lya bukadde bwa ssente 135.

Nnannyini kkampuni ekola weema (Tents) eya Majanja & Sons e Kireka, Ephraim Kirumira Majanja ng’ayita mu kkampuni ye eya Majanja & Sons Company Ltd agamba nti yawa Bryan White weema za bukadde bwa ssente 270.

Majanja agamba nti Bryan White yasasulako kitundu obukadde 135 nga 13, October, 2018.

Majanja agamba nti okuva olwo, agezezaako okutukirira Bryan White okusasula e banja kyokka yeeremye wabula okumutisatiisa okumutusaako obulabe.

Mu kiseera kino Bryan White emirimu gye agitambuliza mu kyalo e Busunju Kikandwa Mityana era ye agamba nti omutindo gwa weema gwali mubi nnyo kuba mu nnaku ssatu (3) zaali zitandika okufuna ebituli.

Omusango ogwo guweereddwa omulamuzi Anna Mugenyi kyokka tekimanyiddwa oba gutandika ddi.