Omuyimbi Rema Namakula wadde muwala muto, akuze mu birowoozo era y’omu ku bakyala abebuzibwako ku nsonga ezenjawulo wadde naye alina ebizibu mu bufumbo bwe. Kigambibwa ye ne bba Eddy Kenzo ebintu tebitambula bulungi wakati waabwe kyokka bombi ensonga bazikutte bulungi kuba ensonga z’omu muka tezoogerwa. Ku mukutu ogwa Instagram, Rema ataddeyo obubaka era agambye nti […]
Omuyimbi Rema Namakula wadde muwala muto, akuze mu birowoozo era y’omu ku bakyala abebuzibwako ku nsonga ezenjawulo wadde naye alina ebizibu mu bufumbo bwe.
Kigambibwa ye ne bba Eddy Kenzo ebintu tebitambula bulungi wakati waabwe kyokka bombi ensonga bazikutte bulungi kuba ensonga z’omu muka tezoogerwa.
Ku mukutu ogwa Instagram, Rema ataddeyo obubaka era agambye nti okwekiririzaamu tekirina kuleetera buggya, bw’okitegeera nti oli waakabi, tolina nsonga yonna lwaki okyawa, “True confidence has no room for jealousy. When you know you are great you have no reason to hate“.
Ebigambo ebyo, buli omu abitegedde mu ngeri ezenjawulo era abamu bagambye nti obubaka abadde abusindikira abakyala abafumbo, abalala mikwano gye ate abamu balowooza nti abadde abusindikira omukazi yenna ayinza okwesembereza waaya ya bba Eddy Kenzo.