Okutya kweyongedde nti ekizimbe ky’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ekiyitibwa ‘Ssemakookiro’ e Kamwokya kigenda kumenyebwa essaawa yonna. Embeera eyo, evudde ku kampuni ya Pearl Hope Investments nga bayita mu bannamateeka ba Lubega Matovu and Co. Advocates okuwandikira abatuuze b’e Mulimira , Kisenyi One ne Old Kira Road […]
Okutya kweyongedde nti ekizimbe ky’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ekiyitibwa ‘Ssemakookiro’ e Kamwokya kigenda kumenyebwa essaawa yonna.
Embeera eyo, evudde ku kampuni ya Pearl Hope Investments nga bayita mu bannamateeka ba Lubega Matovu and Co. Advocates okuwandikira abatuuze b’e Mulimira , Kisenyi One ne Old Kira Road e Kamwokya nga babawadde ennaku musanvu okwamuka ettaka kwebali oba bagenda kusengulwa nga babagamba nga bwe baliriko mu bukyamu.
Ku ttaka eryo, kuliko abatuuze bangi nnyo n’ekizimbe kya Ssemakookiro ekya Bobi Wine ne situdiyo eya Fire Records.
Wabula bannamatteeka ba Bobi Wine nga bakulembeddwamu Benjamin Katana basuubizza okuwandikira aba Pearl Hope Investments okubategeeza emitendera emituufu omuntu yenna gy’alina okuyitiramu okusengula omuntu yenna ku ttaka.