Omusirikale Senior Superintendent of Police (SSP) Nixon Agasirwe abikudde ekyama, alumiriza eyali adduumira poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura okumulagira okuwa Hajji Abdul Kitatta owa Bodaboda 2010 abaserikale ba poliisi okumukuuma n’emmundu. SSP Agasirwe yabadde mu kkooti y’amaggye e Makindye olunnaku olw’eggulo ekubirizibwa Lt. Gen Andrew Gutti kwekutegeeza nti yawa Kitatta abaserikale b’emmundu babiri okuli […]
Omusirikale Senior Superintendent of Police (SSP) Nixon Agasirwe abikudde ekyama, alumiriza eyali adduumira poliisi mu ggwanga Gen Kale Kayihura okumulagira okuwa Hajji Abdul Kitatta owa Bodaboda 2010 abaserikale ba poliisi okumukuuma n’emmundu.
SSP Agasirwe yabadde mu kkooti y’amaggye e Makindye olunnaku olw’eggulo ekubirizibwa Lt. Gen Andrew Gutti kwekutegeeza nti yawa Kitatta abaserikale b’emmundu babiri okuli Allan Matsiko ne Ngobi Sowali ku biragiro bya Gen Kayihura.

Wabula eky’omusirikale Sowali okusangibwa n’emmundu bbiri, Agasirwe yagambye nti takimanyiko kuba ye yalagira Sowali aweebwe emmundu emu ekika kya baasitoola ng’endala eya AK47.
SSP Agasirwe agamba nti byonna yabikola ku biragiro bya Gen Kayihura kuba yali mukaambwe nnyo era tewali buwandiike bwonna.
Kitatta, yazziddwa ku limanda okutuusa nga 25, March, 2019 bannamateeka ba Kitatta okuleeta abajjulizi abalala.
Ate Agasirwe mu kiseera kino naye ali ku limanda mu kkomera ly’amaggye e Makindye ku misango gy’okuwamba bannansi ba Rwanda n’emisango emirala.