Kyaddaki omuyimbi Sheebah Kalungi ayanukudde muyimbi munne Cindy Sanyu mu bukambwe ku ky’okumusaba kolabo. Cindy agamba nti Sheebah muyimbi mulungi nnyo naye tasobola kuyimba “Live” wabula ku “CD” era y’emu ku nsonga lwaki yaswala nnyo mu konsati ye omwaka oguwedde ogwa 2018 ng’ebintu bimulemye kuba yali ‘Live’. Mungeri y’emu Cindy agamba nti mwetegefu okuvuganya ne […]
Kyaddaki omuyimbi Sheebah Kalungi ayanukudde muyimbi munne Cindy Sanyu mu bukambwe ku ky’okumusaba kolabo.
Cindy agamba nti Sheebah muyimbi mulungi nnyo naye tasobola kuyimba “Live” wabula ku “CD” era y’emu ku nsonga lwaki yaswala nnyo mu konsati ye omwaka oguwedde ogwa 2018 ng’ebintu bimulemye kuba yali ‘Live’.

Mungeri y’emu Cindy agamba nti mwetegefu okuvuganya ne Sheebah singa bateekawo ekivvulu, okweraga talenti mu kuyimba ‘live’ ku siteegi.
Wabula Sheebah mu bukambwe, ayanukudde Cindy era agambye nti “Ndi mukazi ayagala okuwagira bakazi banaange, ndi mukazi ayagala okubeera ow’empisa nze nzewadde tewali anfuga most of the times, naye nefuga nemanya wa wenkoma ku business y’omuntu, ffena tulina wetuva, instead nze okumpa battle engeri gye yagambye omukyala nti ayagala kunjigiriza, nsobola okupracticinga, mugamba ekintu kimu aggye tupracticinge, anjigirize okuyimba nange aggye muyiseeko e Munyonyo gye nazimba n’amaka tunoonye ku poloti, tweyambe buli omu ayambe munne”.
Mungeri y’emu agambye nti, “waliwo omuntu tayatudde nti ayagala battle, akumanyidde nabuli kimu kye wali okoleredde, ekyo kyanjawulo siyinza kukola battle naawe nga tompa kitiibwa“.