Hajji Abdullah Kitatta owa Bodaboda 2010, agiddwa mu kaduukulu k’amaggye e Makindye, asindikiddwa e Luzira, okutuusa nga 8, April, 2019. Ssentebbe wa kkooti y’amaggye Lt General Andrew Gutti, yasazeewo Kitatta okugibwa mu kaduukulu k’amaggye e Makindye okutwalibwa e Luzira nga kivudde ku muwaabi wa kkooti y’amaggye Captain Samuel Masereje, okutegeeza nti ebyokwerinda mu kkomera e […]
Hajji Abdullah Kitatta owa Bodaboda 2010, agiddwa mu kaduukulu k’amaggye e Makindye, asindikiddwa e Luzira, okutuusa nga 8, April, 2019.
Ssentebbe wa kkooti y’amaggye Lt General Andrew Gutti, yasazeewo Kitatta okugibwa mu kaduukulu k’amaggye e Makindye okutwalibwa e Luzira nga kivudde ku muwaabi wa kkooti y’amaggye Captain Samuel Masereje, okutegeeza nti ebyokwerinda mu kkomera e Luzira byongedde okutebenkera era Kitatta eky’okumuggya mu kkomera ly’amaggye, tewali kutya kwonna ku bulamu bwe.
Mungeri y’emu agambye nti Kitatta okutwalibwa mu kkomera ly’amaggye, kyakolebwa okutaasa obulamu bwe okubuggya mu katyabaga, kyokka mu kiseera kino, embeera eyongedde okutebenkera mu kkomera e Luzira.
Wabula munnamateeka wa Kitatta, Shaban Sanywa abadde asimbidde ekkuli eky’okutwala omuntu we mu kkomera e Luzira kuba tewali galanti nti ebyokwerinda bitebenkedde.
Mungeri y’emu kkooti olunnaku olwaleero, efundikidde okuwuliriza okwewozaako kwa Kitatta kyokka abajjulizi 3 abayitiddwa mu kkooti tebalabiseeko.
Kitatta avunaanibwa ne basajja be 10 omuli Matia Senfuka, Joel Kibirige, Hassan Ssemata, Jonathan Kayondo, Ssengooba Hassan, Sande Ssemwogerere, John Ssebandeke, Hussein Mugema, Fred Bwanika ne Amon Twinomujuni emisango gy’okusangibwa n’ebyambalo by’amagye, emmundu n’amasasi mu ngeri emenya amateeka.
Yakwatibwa 20, January, 2018 ku woteeri ya Vine Tea e Wakaliga mu divizoni y’e Lubaga.