Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayanukudde ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga y’obukulembeze. Nga 14, March, 2019, Pulezidenti Museveni bwe yali asisinkanyeko abavubuka mu ggoombola ettaano ezikola Kampala (Kampala Central, Kawempe, Lubaga, Makindye ne Nakawa), yewuunya abalonzi kwebasinzira okulonda […]
Kyaddaki omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayanukudde ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga y’obukulembeze.
Nga 14, March, 2019, Pulezidenti Museveni bwe yali asisinkanyeko abavubuka mu ggoombola ettaano ezikola Kampala (Kampala Central, Kawempe, Lubaga, Makindye ne Nakawa), yewuunya abalonzi kwebasinzira okulonda Bobi Wine mu Palamenti.
Museveni yasaba Bobi Wine okusigala mu by’okuyimba byasobola kuba eby’obufuzi ssi bya kuyimba.
Wabula olunnaku olw’eggulo, Bobi Wine bwe yabadde mu bitundu bya Arua ku mukolo omubaka w’ekibuga Arua Kasino Wadri gwe yategese okwebaza abalonzi okumulonda n’Omutonzi obulamu bwamuwadde, yayanukudde Pulezidenti Museveni mu bukambwe.
Bobi Wine mu kwogera kwe yagambye nti, “Museveni alina okujjukira mu kiseera ng’ali mu myaka gyaffe, yasuulawo obulunzi bw’ente nayingira ebyobufuzi okukyusa eggwanga era y’emu ku nsonga lwaki naye yavuddeyo mu kuyimba okukyusa embeera embi mu ggwanga”.