GIWUNYE! Minisita Nakiwala atabukidde omuyimbi Fresh kid, alangiridde okumutwala mu kkomera singa takyusa mu bwangu

©GALAXY

MINISITA w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi atabukidde Ssenyonjo Patrick amanyikiddwa ng’omuyimbi Fresh kid okudda mu ssomero kuba by’akola mu kiseera kino okuyimba mu bivvulu nga tali ku ssomero kimenya mateeka. Minisita Nakiwala agamba nti mu mateeka tewali muntu yenna akirizibwa kukozesa mwana ali wansi w’emyaka 18 n’okusingira ddala okumukozesa okumuggyamu ensimbi. Mungeri y’emu agambye nti […]


MINISITA w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi atabukidde Ssenyonjo Patrick amanyikiddwa ng’omuyimbi Fresh kid okudda mu ssomero kuba by’akola mu kiseera kino okuyimba mu bivvulu nga tali ku ssomero kimenya mateeka.

Minisita Nakiwala agamba nti mu mateeka tewali muntu yenna akirizibwa kukozesa mwana ali wansi w’emyaka 18 n’okusingira ddala okumukozesa okumuggyamu ensimbi.

Mungeri y’emu agambye nti ku myaka gya Fresh kid alina kuba mu ssomero era tewali buzibu bwonna okuyimba ng’asinzira ku ssomero naye okumukozesa okuyimba mu bivvulu, bayinza okumukwata oba okukwata abantu bonna abamukozesa.

Nakiwala Kiyingi
Nakiwala Kiyingi

Minisita Nakiwala ku nsonga za Fresh Kid agamba nti, “Sseemateeka wa Uganda akawayiro namba 59 akafuga abaana ba Uganda era mu katundu 56 ate mu kawayiro part two akawayiro namba 8 kateeka envumbo okukozesa omwana yenna ali wansi w’emyaka 18, omwana osobola okumugunjula nga mu masomero nga babayigiriza ennyimba oba emizannyo ne babatwala mu zi konsati ne bavuganya ne banaabwe naye omwana oyo okuvuganya okukwe, kulina okuba nga tekulina nsako oba ssente yonna, ate alina okukikola ng’ali mu ssomero nga waliwo abagunjuzi abeetaba mu mulimu gwe gumu. omwana omuto singa yeetaba mu mizannyo oba okuyimba oba otyobodde eddembe lye era ekibonerezo kiweebwa oyo yenna eyetabye mu kubalaba, okubakozesa n’omuntu abaleese n’omuntu abapangisizza bonna mu Penal Code babeera batyobodde eddembe ly’omwana kuba omwana alina wansi w’emyaka 18 ye nga ye tamenya mateeka wabaawo omuntu amuyambye okumenya amateeka, omwana ali wakati w’emyaka 12 – 18 asibwa mu kkomera lya bato mu ngeri y’okubagunjula n’okubabulirira“.