Kyaddaki Rema Namakula avuddemu omwasi ku nsonga z’amaka, bba Kenzo amunyize ‘Next’ tayagala kumanya

©GALAXY

Omuyimbi Rema Namakula asabye bannayuganda okumuyamba beesonyiwe ensonga za famire ye kuba zitwalibwa nga zakyama. Rema abadde ku Bukedde TV okwanukula ku nsonga z’amaka, kubigambibwa nti yanobye mu maka ga bba Eddy Kenzo. Wabula asabye obutayogera kigambo kyonna ku nsonga za famire kuba zirina okuba nga zakyama n’asuubiza okuzoogerako mu kiseera ekituufu. Bwabuuziddwa ku nsonga […]


Omuyimbi Rema Namakula asabye bannayuganda okumuyamba beesonyiwe ensonga za famire ye kuba zitwalibwa nga zakyama.

Rema abadde ku Bukedde TV okwanukula ku nsonga z’amaka, kubigambibwa nti yanobye mu maka ga bba Eddy Kenzo.
Wabula asabye obutayogera kigambo kyonna ku nsonga za famire kuba zirina okuba nga zakyama n’asuubiza okuzoogerako mu kiseera ekituufu.

Bwabuuziddwa ku nsonga za bba Eddy Kenzo agambye nti, ” mulungi talina ttaabu‘, ate kubigambibwa nti omusajja yamukyawa, Rema agambye nti, “mbuuza ekiddako, Next“, ate ku nzonga z’okuzza ku mwana, agambye nti, “omwana akyali baby, akyali baby kaagira akula“, ate ku bigambibwa nti Kenzo yamusuula mu nnyumba, Rema agambye nti, “Next” wakati mu ssannyu.

Ebibuuzo byonna Rema abadde abiddamu ng’ali mu ssannyu kyokka nga biraga nti waliwo obutakaanya wakati we ne bba Kenzo.
Kigambibwa Rema yasengukira Namugongo oluvanyuma lw’okunoba mu maka ga bba Seguku.