Nga bangi ku bannayuganda bakyalinda ‘battle’ wakati w’omuyimbi Cindy Sanyu ne Sheebah Kalungi, nate olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano, kitegerekese bulungi nti balina okuyimba buli okulagako munne. Cindy ne Sheebah olunnaku olw’enkya mu konsati y’omuyimbi Ykee Benda ku Serena Hotel mu Kampala balina okuyimba bonna, ekiraga nti balina okuyimbira ku siteegi emu, abantu okulondako asinga okuyimba. […]
Nga bangi ku bannayuganda bakyalinda ‘battle’ wakati w’omuyimbi Cindy Sanyu ne Sheebah Kalungi, nate olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano, kitegerekese bulungi nti balina okuyimba buli okulagako munne.
Cindy ne Sheebah olunnaku olw’enkya mu konsati y’omuyimbi Ykee Benda ku Serena Hotel mu Kampala balina okuyimba bonna, ekiraga nti balina okuyimbira ku siteegi emu, abantu okulondako asinga okuyimba.

Wadde Ykee Benda alinze olunnaku olw’enkya okukyamula abalabi, bangi ku badigize besuunze okulaba engeri Sheebah ne Cindy gye bayinza okuyimba mu kivvulu kye kimu era ani asinga abawagizi.
Cindy agamba nti mu Uganda y’omu ku bakyala abasiinga okuyimba ‘LIVE’ ku siteegi era agamba nti wadde Sheebah alina ennyimba enungi, muyimbi wa CD.