Omuwala Tanasha Donna Oketch asabye muganzi we omuyimbi omutanzaniya Diamond Platnumz okwesonyiwa ebigambo by’abantu ebyogerwa n’ebiwandikibwa. Tanasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutegeeza Platnumz ekigenda okubayamba okuwangaza omukwano gwaabwe. Mu bigambo bye, Tanasha agambye nti, “DON’T BELIEVE EVERYTHING YOU READ OR HEAR“. Mu nsi yonna, ekimu ku kintu ekisinga okusanyawo obufumbo oba omukwano, mulimu ‘ebigambo’. […]
Omuwala Tanasha Donna Oketch asabye muganzi we omuyimbi omutanzaniya Diamond Platnumz okwesonyiwa ebigambo by’abantu ebyogerwa n’ebiwandikibwa.
Tanasha asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutegeeza Platnumz ekigenda okubayamba okuwangaza omukwano gwaabwe.
Mu bigambo bye, Tanasha agambye nti, “DON’T BELIEVE EVERYTHING YOU READ OR HEAR“.
Mu nsi yonna, ekimu ku kintu ekisinga okusanyawo obufumbo oba omukwano, mulimu ‘ebigambo’. Ebigambo bitabula era singa omuntu yenna tabyesonyiwa, omukwano teguwangala.
Obukwakulizo bya Tanasha kabonero akalaga nti waliwo ebigambo ebiyitingana mu bantu abenjawulo oba ku mitimbagano, ebiyinza okunyiza bba Platnumz era y’emu ku nsonga lwaki amulabudde mu bwangu.

Mu kiseera kino, ebikolebwa wakati wa Tanasha ne Platnumz, Zari Hassan tebikyamuwa buzibu bwonna wabula okufuna essannyu n’okukola emirimu gye, okufuna ssente okulabirira abaana be.