Omuyimbi Derrick Katongole amanyikiddwa nga Victor Kamenyo naye yegasse ku bayimbi abalala, okulangirira nti 2021, agenda kwesimbawo. Victor Kamenyo agamba nti 2021 agenda kwesimbawo okuvuganya Moses Kasibante e Rubuga North okusobola okutwala enkyukakyuka n’obuwereza obulungi eri abantu. Kamenyo agamba nti Kasibante alina ebintu bingi nnyo ebimulemye okukola era abalonzi balina 2021 okulonda omuntu agwanidde okutwala […]
Omuyimbi Derrick Katongole amanyikiddwa nga Victor Kamenyo naye yegasse ku bayimbi abalala, okulangirira nti 2021, agenda kwesimbawo.
Victor Kamenyo agamba nti 2021 agenda kwesimbawo okuvuganya Moses Kasibante e Rubuga North okusobola okutwala enkyukakyuka n’obuwereza obulungi eri abantu.
Kamenyo agamba nti Kasibante alina ebintu bingi nnyo ebimulemye okukola era abalonzi balina 2021 okulonda omuntu agwanidde okutwala ensonga zaabwe mu Palamenti, zikolebweko.

Mungeri y’emu agambye nti alina buli kimu ekyetagisa okwesimbawo omuli obuyigirize ku kifo kyonna era tewali muntu yenna ayinza kwekiika mu kulondebwa kwe.
Mu kiseera kino abayimbi abaagala okwesimbawo beeyongedde obungi omuli Bobi Wine ku bwa Pulezidenti, Kalifah Aganaga, Jose Chameleone, Mathias Walukagga, Geoffrey Lutaaya, Ronald Mayinja n’abalala.
Eddoboozi lya Kamenyo