Kyaddaki Minisita w’eggwanga owa tekinologiya, Aidah Erios Nantaba ayanukudde famire y’omugenzi Ssebulime Ronald, eyattibwa ku Ssande. Ssebulime yakubiddwa amasasi e Nagojje mu disitulikiti y’e Mukono ku kigambibwa nti yabadde avuga pikipiki, kwe yabadde n’omutemu eyabadde n’emmundu ne bagezaako okutemula Minisita Nantaba. Olunnaku olw’eggulo mu kuziika Ssebulime mu disitulikiti y’e Mubende, abakungubazi batabukidde Minisita Nantaba okuviirako […]
Kyaddaki Minisita w’eggwanga owa tekinologiya, Aidah Erios Nantaba ayanukudde famire y’omugenzi Ssebulime Ronald, eyattibwa ku Ssande.
Ssebulime yakubiddwa amasasi e Nagojje mu disitulikiti y’e Mukono ku kigambibwa nti yabadde avuga pikipiki, kwe yabadde n’omutemu eyabadde n’emmundu ne bagezaako okutemula Minisita Nantaba.
Olunnaku olw’eggulo mu kuziika Ssebulime mu disitulikiti y’e Mubende, abakungubazi batabukidde Minisita Nantaba okuviirako omuntu waabwe okufa, baamusabye okuvaayo okulabirira famire y’omugenzi omuli n’abaana bonna 4 kuba yeyavuddeko kitaabwe okuttibwa.

Wabula Minisita Nantaba abaanukudde era agambye nti wadde Ssebulime yattiddwa, yabadde alina ekigendererwa eky’okumutusaako obulabe.
Mungeri y’emu agambye nti aba famire balina okweddako kuba Ssebulime okuttibwa, yafudde alina ebyama, kuba yabadde alina okumutegeeza omuntu eyamutumye okumutusaako obulabe.
Nantaba era agambye nti Ssebulime singa yakwattiddwa, kyandibadde kiyambeko ne Gavumenti okuzuula abatemu abatigomya eggwanga lino nga batambulira ku bodaboda.