Chameleone atabukidde Minisita Nakiwala ku ky’okulemesa Fresh Kid okuyimba, amuwadde amagezi okwesonyiwa talenti

©GALAXY

Omuyimbi Jose Chameleone avuddeyo ku nsonga za minisita w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi okulemesa omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 okuyimba. Minisita Nakiwala agamba nti ku myaka gya Fresh Kid alina kuba mu ssomero era abantu bonna abamutwala mu bivvulu okuyimba balina okukikomya. Mungeri y’emu agamba nti, omuntu yenna akozesa omwana omuto […]


Omuyimbi Jose Chameleone avuddeyo ku nsonga za minisita w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi okulemesa omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7 okuyimba.

Minisita Nakiwala agamba nti ku myaka gya Fresh Kid alina kuba mu ssomero era abantu bonna abamutwala mu bivvulu okuyimba balina okukikomya.

Mungeri y’emu agamba nti, omuntu yenna akozesa omwana omuto okufuna ssente kimenya amateeka era abakozesa Fresh Kid, singa tebakikomya bonna baakukwatibwa.

Fresh Kid ne Minisita Nakiwala
Fresh Kid ne Minisita Nakiwala

Wabula Chameleone agamba nti Minisita Nakiwala talina kulemesa Fresh Kid kuyimba kuba alina talenti era alina kuteekawo bukwakulizo engeri gy’alina okuyimba.

Chameleone agamba nti balina okutwala Fresh Kid mu bifo ebyobuvunaanyizibwa ate mu budde obutuufu kuba alina okusoma ku myaka gye.

Mungeri y’emu agambye nti Minisita alina okuwa abazadde ba Fresh Kid obukwakulizo ku mwana waabwe engeri gy’alina okutambuza obulamu, ebifo by’alina okuyimbiramu, essaawa zalina okuyimba okusinga okumukotogera okumulemesa okuyimba n’okulaga eggwanga talenti.