Munnakatemba MC Mariachi alaze kye bayita ssente, bw’ayingizaawo kapyata y’emmotoka. Mariachi yayingizaawo Prado TX ekiraga nti talenti y’okuzannya katemba asobodde okufunamu ssente okukyusa obulamu n’okulya eswagga. Mu Uganda, Mariachi y’omu ku bazannyi abeegulidde erinnya mu kuzannya katemba era y’omu ku basiinga okufuna ssente. Sabiti ewedde, yawangula ‘Award’ mu mpaka za Zzina Awards ng’omuzannyi eyasinga okuzannya […]
Munnakatemba MC Mariachi alaze kye bayita ssente, bw’ayingizaawo kapyata y’emmotoka.
Mariachi yayingizaawo Prado TX ekiraga nti talenti y’okuzannya katemba asobodde okufunamu ssente okukyusa obulamu n’okulya eswagga.
Mu Uganda, Mariachi y’omu ku bazannyi abeegulidde erinnya mu kuzannya katemba era y’omu ku basiinga okufuna ssente.
Sabiti ewedde, yawangula ‘Award’ mu mpaka za Zzina Awards ng’omuzannyi eyasinga okuzannya katemba mu 2018 – 2019.